Essuula 17
1 Ne Bayita mu Anfipoli ne Apolooniya ne batuuka e Ssessaloniika eyali ekkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya:
2 awo Pawulo nga bwe yali empisa ye n'ayingira mu bo, mu ssabbiiti ssatu n'awakana nabo mu byawandiikibwa,
3 ng'abikkula ng'ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu; era nti Oyo Yesu nze gwe mbabuulira ye Kristo.
4 Abamu ku bo ne bakkiriza ne beegatta ne Pawulo ne Siira; n'Abayonaani abeegendereza ekibiina kinene n'abakyala abakulu si batono.
5 Naye Abayudaaya bwe baakwatibwa obuggya ne batwala abantu ababi ab'omu bakopi ne bakuŋŋaanyisa abantu ne basasamaza ekibuga. Ne bazingiza ennyumba ya Yasooni ne baagala okubaleeta mu maaso g'abantu.
6 Bwe bataabalaba, ne bawalula Yasooni n'ab'oluganda abamu okubatwala mu maaso g'abakulu ab'omu kibuga nga boogerera waggulu nti Bano abavuunika ensi bazze ne wano;
7 ne Yasooni yabasembezezza. Bano bonna bajeemera amateeka ga Kayisaali nga bagamba nti Waliwo kabaka omulala, Yesu.
8 Ne basasamaza ekibiina n'abakulu ab'omu kibuga bwe baawulira ebyo.
9 Bwe baamala okweyimiriza Yasooni n'abalala, ne babata.
10 Amangu ago ab'oluganda ne basindika ekiro Pawulo ne Siira okugenda e Beroya: nabo bwe baatuuka eyo ne bayingira mu kkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya.
11 Naye bano baali balungi okusinga ab'e Ssessaloniika, kubanga bakkiriza ekigambo n'omwoyo omwangu ennyo, buli lunaku nga banoonya mu byawandiikibwa oba nga ebyo bwe biri bwe bityo.
12 Abamu bangi kyebaava bakkiriza, era n'abakazi abakyala Abayonaani n'abasajja si batono.
13 Naye Abayudaaya ab'e Ssessaloniika bwe baategeera ng'ekigambo kya Katonda kibuuliddwa Pawulo era mu Beroya, era ne bajjayo ne baweerera ebibiina ne babasasamaza.
14 Awo amangu ago ab'oluganda ne basindika Pawulo okugenda okutuuka ku nnyanja: Siira ne Timoseewo ne babeera eyo.
15 Naye abaawerekera Pawulo ne bamuleeta mu Asene, ne balagirwa okugamba Siira ne Timoseewo bajje gy'ali amangu nga bwe bayinza, ne bagenda.
16 Naye Pawulo bwe yali mu Asene ng'abalindirira, omwoyo gwe ne gumuluma bwe yalaba ekibuga nga kijjudde ebifaananyi.
17 Awo n'awakaniranga mu kkuŋŋaaniro n'Abayudaaya n'abaali batya Katonda era ne mu katale buli lunaku n'abo abaamusisinkananga.
18 Awo abantu abamu abafirosoofo, aba Epikuliyo ne Abasutoyiiko, ne bamusisinkana. Abamu ne bagamba nti Ayagala kwogera ki abujjabujjana ono? Abamu ne bagamba nti Afaanana ng'abuulira balubaale abaggya: kubanga yali ng'abuulira Yesu n'okuzuukira.
19 Ne bamutwala ne bamuleeta ku Aleyopaago nga bagamba nti Tunaayinza okutegeera okuyigiriza kuno okuggya kw'oyogera nga bwe kuli?
20 Kubanga oleeta ebigambo ebiggya mu matu gaffe: kyetuva twagala okutegeera amakulu g'ebigambo bino.
21 (Abaasene bonna n'abagenyi abaabangayo tebaakolanga kintu kirala wabula okwogeranga oba okuwuliranga ekigambo ekiggya.)
22 Pawulo n'ayimirira wakati wa Aleyopaago n'agamba nti Abasajja Abaasene, mbalabye mu byonna nga mutya nnyo balubaale.
23 Kubanga bwe mbadde mpita ne ntunuulira bye musinza, era ne nsanga ekyoto ekiwandiikiddwako nti KYA KATONDA ATATEGEERWA. Kale kye musinza nga temukitegeera nze kye mbabuulira.
24 Katonda eyakola ensi n'ebirimu byonna, oyo kubanga ye Mukama w'eggulu n'ensi tabeera mu masabo agakolebwa n'emikono,
25 so taweerezebwa mikono gya bantu, ng'eyeetaaga ekintu, kubanga oyo ye abawa bonna obulamu n'okussa omukka ne byonna;
26 yakola okuva ku omu buli ggwanga ly'abantu okutuulanga ku nsi enjuyi zonna, bwe yalagira n'ayawulamu ebiro n'ensalo ez'okutuula kwabwe:
27 banoonyenga Katonda mpozzi bawammante okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe:
28 kubanga mu oyo tuba balamu, tutambula, tubeerawo; era ng'abamu ab'ewammwe abayiiya bwe bagamba nti Kubanga era tuli zzadde lye.
29 Kale bwe tuli ezzadde lya Katonda, tekitugwanira kulowoozanga nti Katonda afaanana zaabu oba ffeeza oba jjinja, ebyolebwa n'obukabakaba n'amagezi g'abantu.
30 Kale Katonda ebiro ebyo eby'obutamanya teyabitunuuliranga; naye kaakano alagira abantu bonna abali wonna wonna okwenenya,
31 kubanga yateekawo olunaku lw'agenda okusaliramu omusango ogw'ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.
32 Naye bwe baawulira okuzuukira kw'abafu abamu ne baŋoola; abalala ne bagamba nti Era tulikuwulira nate olw'ekigambo ekyo.
33 Bwe batyo Pawulo n'abavaamu wakati.
34 Naye abasajja abamu ne beegatta naye ne bakkiriza: mu abo Diyonusiyo Omwaleyopaago, n'omukazi erinnya lye Damali, n’abalala wamu nabo.