Essuula 1
1 Ekitabo eky'olubereberye nnakikola, munnange Teefiro, ekya byonna Yesu bye yasooka okukola n'okuyigiriza,
2 okutuusa ku lunaku luli bwe yamala okulagira ku bw'Omwoyo Omutukuvu abatume be yalonda n'atwalibwa mu ggulu.
3 Bwe yamala okubonyaabonyezebwa ne yeeraga mu bo nga mulamu, mu bubonero bungi, ng'abalabikira ebbanga ly'ennaku amakumi ana, ng'ayogera eby'obwakabaka bwa Katonda.
4 Awo bwe yakuŋŋaana nabo n'abalagira baleme okuva mu Yerusaalemi, naye balindirire okusuubiza kwa Kitaawe kwe baawulira gy'ali:
5 kubanga Yokaana yabatiza n'amazzi; naye mmwe mulibatizibwa n'Omwoyo Omutukuvu mu nnaku si nnyingi.
6 Awo bwe baakuŋŋaana ne bamubuuza nga bagamba nti Mukama waffe, mu biro bino mw'onookomezaawo obwakabaka eri Isiraeri?
7 N'abagamba nti Si kwammwe okumanya entuuko newakubadde ebiro, Kitaffe bye yateeka mu buyinza bwe ye.
8 Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n'okutuusa ku nkomerero y'ensi.
9 Bwe yamala okwogera ebyo, nga batunuulira, n'asitulibwa, ekire ne kimutoola okumuggya mu maaso gaabwe.
10 Bwe baali beekaliriza amaaso mu ggulu bw'agenda, laba, abantu babiri ne bayimirira kumpi nabo nga bambadde engoye ezitukula;
11 abaayogera nti Abantu b’e Ggaliraaya kiki ekibayimiriza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bw'atyo nga bwe mumulabye ng'agenda mu ggulu.
12 Ne bakomawo e Yerusaalemi okuva ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, oluli okumpi ne Yerusaalemi ng'olugendo olw'oku ssabbiiti.
13 Awo bwe baayingira ne balinnya mu kisenge ekya waggulu, we baatuulanga; Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne Andereya, Firipo ne Tomasi, Battolomaayo ne Matayo, Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Simooni Zerote, ne Yuda omwana wa Yakobo.
14 Abo bonna baali nga banyiikira n'omwoyo gumu mu kusaba, wamu n'abakazi ne Malyamu nnyina Yesu, ne baganda be.
15 Mu nnaku ezo Peetero n'ayimirira wakati mu b'oluganda n’ayogera (ekibiina ky'abantu abaakuŋŋaana baali nga kikumi mu abiri) nti
16 Abasajja ab'oluganda, kyagwana ekyawandiikibwa kituukiririzibwe, Omwoyo Omutukuvu kye yayogera edda mu kamwa ka Dawudi, ku Yuda, eyali omusaale waabwe abaakwata Yesu;
17 kubanga yabalirwa wamu naffe, n'aweebwa omugabo gw'okuweereza kuno.
18 (Oyo n'agula ennimiro n'empeera ey'obubi bwe; n'agwa nga yeevuunise, n'ayabikamu wakati, ebyenda byonna ne biyiika.
19 Ne kitegeerekeka eri abo bonna abaali mu Yerusaalemi: ennimiro eyo mu lulimi lwabwe n'okuyitibwa n'eyitibwa Akerudama, ye nnimiro ey'omusaayi.)
20 Kubanga kyawandiikibwa mu kitabo kya Zabbuli nti Ekibanja kye kizike, So kireme okubeerangamu omuntu: era nti Obukulu bwe buweebwe omulala.
21 Kale kigwanye mu bantu abaayitanga naffe mu biro byonna bwe yayingiranga n'avanga gye tuli Mukama waffe Yesu
22 okuva ku kubatiza kwa Yokaana okutuusa ku lunaku lwe yatuggibwako, omu ku abo abeere omujulirwa w'okuzuukira kwe awamu naffe.
23 Ne baloada babiri, Yusufu ayitibwa Balusaba, n'atuumibwa nate erinnya Yusito, ne Matiya.
24 Ne basaba, ne bagamba nti Ggwe, Mukama waffe, amanyi emitima gy'abantu bonna, lagako omu gw'olonze ku bano bombi,
25 aweebwe ekifo ky'okuweereza okwo n'obutume, Yuda bwe yasubwa agende mu kifo kye ye.
26 Ne babakubira obululu; akalulu ne kagwa ku Matiya; n’abalirwa wamu n'abatume ekkumi n'omu.