Yokaana

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

  • 1 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala w'ennyanja ey'e Ggaliraaya ey'e Tiberiya.
    2 Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde.
    3 Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be.
    4 N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka.
    5 Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?
    6 Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola.
    7 Firipo n'amuddamu nti Emmere egulibwa dinaali ebikumi ebibiri teebabune, buli muntu okulyako akatono.
    8 Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti
    9 Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?
    10 Yesu n'agamba nti Mutuuze abantu. Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, omuwendo ng'enkumi ttaano.
    11 Awo Yesu n'atoola emigaati; ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala.
    12 Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okubula ekintu.
    13 Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya bwe baalemwa.
    14 Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.
    15 Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka.
    16 Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja;
    17 ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali.
    18 Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta.
    19 Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya.
    20 Naye n'abagamba nti Nze nzuuno, temutya.
    21 Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
    22 Olunaku olw'okubiri, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja bwe baalaba nga teriiyo lyato ddala, wabula erimu, era nga ne Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye abayigirizwa be nga bagenda bokka,
    23 (naye amaato amalala gaava e Tiberiya nga gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza):
    24 awo ekibiina bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu.
    25 Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano?
    26 Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta.
    27 Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga KitafFe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.
    28 Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda?
    29 Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.
    30 Awo ne bamugamba nti Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? okola mulimu ki?
    31 Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.
    32 Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu.
    33 Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.
    34 Awo ne bamugamba nti Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.
    35 Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.
    36 Naye n'abagamba nti mundabye, era temukkirizza.
    37 Buli Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono.
    38 Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala.
    39 Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero.
    40 Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
    41 Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyira kubanga yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu.
    42 Ne bagamba nti Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti Nnava mu ggulu?
    43 Yesu n'addamu n'abagamba nti Temwemulugunya mwekka na mwekka.
    44 Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
    45 Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.
    46 Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange.
    47 Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo.
    48 Nze mmere ey'obulamu.
    49 Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa.
    50 Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa.
    51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.
    52 Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?
    53 Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.
    54 Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
    55 Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala, n'omusaayi gwange kye kyokunywa ddala.
    56 Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye.
    57 Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omulamu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange.
    58 Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe.
    59 Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu.
    60 Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?
    61 Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyira kino, n'abagamba nti Kino kibeesittaza?
    62 kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye?
    63 Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.
    64 Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza. Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.
    65 N'agamba nti Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.
    66 Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate.
    67 Awo Yesu n'agamba ekkumi n'ababiri nti Era nammwe mwagala okugenda?
    68 Simooni Peetero n'amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obulamu obutaggwaawo.
    69 Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.
    70 Yesu n'abaddamu nti Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri, era omu ku mmwe ye setaani?
    71 Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda kumulyamu olukwe, ye omu ku kkumi n'ababiri.