-
1 Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
2 Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.
3 Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.
4 Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.
5 Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tulimanyi tutya?
6 Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
7 Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.
8 Firipo n'amugamba nti Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.
9 Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe?
10 Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.
11 Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka.
12 Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange.
13 Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana.
14 Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.
15 Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
16 Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.
17 Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.
18 Siribaleka bamulekwa; nkomawo gye muli.
19 Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.
20 Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mmwe.
21 Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.
22 Yuda (atali Isukalyoti; n'amugamba nti Mukama waffe; kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikira ffe, so si eri ensi?
23 Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tunaatuulanga gy'ali.
24 Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.
25 Ebigambo ebyo mbabuulidde nga nkyali nammwe.
26 Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.
27 Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
28 Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.
29 Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize.
30 Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo;
31 naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.