Mikka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7


Chapter 6

1 Kale muwulire ebyo Mukama by'ayogera; nti Yimuka, yomba mu maaso g'ensozi; obusozi buwulire eddoboozi lyo.
2 Muwulire, mmwe ensozi, ennyombo za Mukama, era mmwe emisingi egy'ensi egy'oluberera: kubanga Mukama alina ennyombo n'abantu be, aliwoza ne Isiraeri.
3 Mmwe abantu bange, mbakoze ki? nali mbakooyezza naki? munnumirize.
4 Kubanga nakuggya mu nsi y'e Misiri ne nkununula mu nnyumba ey'obuddu; ne nkukulembeza Musa ne Alooni ne Miryamu.
5 Mmwe abantu bange, mujjukire nno Balaki kabaka wa Mowaabu bye yateesa, era Balamu omwana wa Byoli bye yamuddamu; mujjukire ebyabaawo okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali, mulyoke mumanye ebikolwa eby'obutuukirivu ebya Mukama.
6 Najja naki eri Mukama ne nvuunama mu maaso ga Katonda asinga byonna? mmusemberere n'ebiweebwayo ebyokebwa, n'ennyana ezaakamaze omwaka gumu?
7 Mukama alisiima endiga eza seddume enkumi oba emigga egy'amafuta obukumi? mpeeyo omwana wange omubereberye olw'okwonoona kwange, mpeeyo ekibala ky'omubiri gwange olw'ekibi eky'omu mmeeme yange?
8 Akubuulidde, ggwe omuntu, ekirungi bwe kiri; era Mukama akusalira kiki, wabula okukola eby'ensonga, era okwagala ekisa, era okutambula n'obuwombeefu ne Katonda wo?
9 Eddoboozi lya Mukama lyogerera waggulu eri ekibuga, n'ow'amagezi aliraba erinnya lyo; muwulire omuggo, n'oyo bw'ali agulagidde.
10 Ebintu eby'omuwendo eby'obubi bikyali mu nnyumba y'omubi, n'ekigera ekitatuuka eky'omuzizo?
11 Ndiba mulongoofu bwe mba ne minzaani ey'obubi n'ensawo erimu ebipima eby'obulimba?
12 Kubanga abagagga baakyo bajjudde ekyejo, n'abo ababeera mu kyo boogedde eby'obulimba, n'olulimi lwabwe lwa bulimba mu kamwa kaabwe:
13 Nange kyenvudde nkufumita ekiwundu ekinene; nkuzisizza olw'ebibi byo.
14 Olirya, so tolikkuta; era okutoowazibwa kwo kuliba wakati wo; era olijjulula, naye tolitwala mirembe; era ky'otwala ndikiwaayo eri ekitala.
15 Olisiga, naye tolikungula; olirinnyirira zeyituuni, naye tolisaaba mafuta; era olisogola, naye tolinywa ku mwenge.
16 Kubanga ebyalagirwa Omuli bikuumibwa, era ebikolwa byonna eby'omu nnyumba ya Akabu; nammwe mutambulira mu kuteesa kwabwe; ndyoke nkufnule ekifulukwa, n'abo ababeera mu kyo eky'okuduulirwa; nammwe mulitwala ebivume by'abantu bange.