Mikka

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7


Chapter 2

1 Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukva, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe.
2 N'abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe.
3 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggyamu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga bino bye biro ebibi.
4 Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange; ng'akinziyako! agabira abajeemu ebyalo byaffe.
5 Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omugwa, akalulu bwe kamugwako, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama.
6 Temulagulanga, bwe batyo bwe balagula. Tebaliragulira abo; ebivume tebiriggibwawo;
7 kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo, nti Omwoyo gwa Mukama gufunze? bino bye bikolwa bye? Ebigambo byange tebiwoomera oyo atambula n'obugolokofu?
8 Naye mu nnaku zino abantu bange bayimuse ng'abalabe; muggyako essuuka ku ngoye z'abo abayita nga tebaliiko kye batya, ng'abantu abatayagala kulwana.
9 Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; ku baana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna.
10 Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'empitambi ezikiriza, era n'okuzikiriza okutenkanika.
11 Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okulimba, bw'alimba ng'ayogera nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiiza, ye aliba omulaguzi ow'abantu bano.
12 Sirirema kukuŋŋaanya ab'ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'endiga eza Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi.
13 Oyo awagula ayambuse mu maaso gaabwe; bawagudde bayise batuuse ku luggi olwa wankaaki, era bafulumidde omwo; era kabaka waabwe ayise mu maaso gaabwe, Mukama abakulembedde.