</h2>i</h2>

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9


Chapter 5

1 Muwulire ekigambo kino kye nkwata okubakungubagira, ai ennyumba ya Isiraeri.
2 Omuwala wa Isiraeri agudde; takyayimuka nate: asuuliddwa wansi ku nsi ye tewali wa kumuyimusa.
3 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Ekibuga ekyavangamu olukumi kirisigazaawo kikumi, n'ekyo ekyavangamu ekikumi kirisigazaawo kkumi, eri ennyumba ya Isiraeri.
4 Kubanga bw'ati Mukama bw'agamba ennyumba ya Isiraeri nti Munnoonye, kale munaabanga balamu:
5 naye temunoonyanga Beseri, so temuyingiranga mu Girugaali, so temuyitanga okugenda e Beeruseba: kubanga Girugaali tekirirema kugenda mu busibe, ne Beseri kiriggwaawo.
6 Munoonye Mukama, kale munaabanga balamu; aleme okubuubuuka ng'omuliro mu nnyumba ya Yusufu, ne gwokya so nga tewali wa kuguzikiza mu Beseri:
7 mmwe abafuula omusango okuba obusinso, ne musuula wansi obutuukirivu;
8 munoonye oyo akola kakaaga n'entungalugoye, era afuula ekisiikirize eky'okufa okuba enkya, era asiikiriza omusana n'ekiro; ayita amazzi ag'omu nnyanja n'agafuka ku maaso g'olukalu; Mukama lye linnya lye;
9 aleeta okuzikirira ku w'amaanyi nga tamanyiridde, okuzikirira ne kutuuka ku kigo.
10 Bakyawa oyo anenya mu mulyango, era batamwa oyo ayogera ebigolokofu.
11 Kale kubanga mulinnyirira omwavu, ne mumukamula eŋŋaano: mwazimba ennyumba ez'amayinja amateme, naye temulizituulamu; mwasimba ensuku z'emizabbibu ezisanyusa, naye temulinywa mwenge gwamu.
12 Kubanga mmanyi ebyonoono byammwe bwe byenkana obungi n'ebibi byammwe bwe byenkana amaanyi mmwe ababonyaabonya omutuukirivu, abalya enguzi, era abagobera abo abeetaaga mu mulyango.
13 Omukabakaba kyaliva asirika mu biro ebifaanana bwe bityo; kubanga bye biro ebibi.
14 Munoonye obulungi so si bubi, mulyoke mubeerenga abalamu: kale Mukama Katonda ow'eggye anaabanga nammwe nga bwe mwogera.
15 Mukyawenga obubi, mwagalenga obulungi, munywezenga eby'ensonga mu mulyango: mpozzi Mukama Katonda ow'eggye alikwatirwa ekisa ekitundu kya Yusufu ekifisseewo.
16 Mukama Katonda ow'eggye, Mukama kyava ayogera bw'ati nti Ebiwoobe biriba mu nguudo zonna engazi era balyogerera mu makubo gonna nti Woowe, woowe! kale baliyita omulimi okukuba ebiwoobe, n'abo abalina amagezi okukungubaga okukuba ebiwoobe.
17 Awo mu nsuku zonna ez'emizabbibu mulibaamu ebiwoobe: kubanga ndiyita mu ggwe wakati, bw'ayogera Mukama.
18 Zibasanze mmwe abeegomba olunaku lwa Mukama! mwagalira ki olunaku lwa Mukama? kizikiza so si musana.
19 Kwenkana omusajja ng'adduka empologoma, n'asisinkana eddubu n'esisinkana naye: oba ng'ayingira mu nnyumba ne yeekwata ku kisenge omukono gwe omusota ne gumuluma.
20 Olunaku lwa Mukama teruliba kizikiza so si musana? ekizikiza zigizigi so nga temuli katangaala?
21 Nkyawa, nnyooma embaga zammwe, so sirisanyukira kukuŋŋaana kwammwe okutukuvu.
22 Weewaawo, newakubadde nga muwaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe eby'obutta, siribikkiriza: so sirissaayo mwoyo eri ebiweebwayo olw'emirembe eby'ensolo zammwe eza ssava.
23 Nziyaako oluyoogaano olw'ennyimba zo; kubanga siiwulire nnanga zo bwe zikubibwa obulungi.
24 Naye omusango gukulukute ng'amazzi, n'obutuukirivu ng'omugga ogw'amaanyi.
25 Mwandeeteranga ssaddaaka n'ebiweebwayo mu ddungu emyaka amakumi ana, ai ennyumba ya Isiraeri?
26 Weewaawo, mwasitulanga Sikusi kabaka wammwe ne Kiyuni, ebifaananyi byammwe, emmunyeenye ya katonda wammwe, bye mwekolera.
27 Kyendiva mbatwaza mu busibe okuyita e Ddamasiko, bw'ayogera Mukama, erinnya lye Katonda ow'eggye.