Chapter 4
1 Muwulire ekigambo kino, mmwe ente ez'e Basani, abali ku lusozi lwa Samaliya, abajooga abaavu, abakamula abeetaaga, abagamba bakama baabwe nti Muleete tunywe.
2 Mukama Katonda alayidde obutukuvu bwe nga, laba, ennaku ziribatuukako lwe balibaggyawo n'amalobo, n'ekitundu kyammwe ekirifikkawo balibaggyawo n'amalobo agavuba.
3 Era mulivaamu nga muyita mu bituli ebiwaguddwa, buli nte ng'esimbira ddala mu maaso gaayo; ne mwesuula mu Kalumooni, bw'ayogera Mukama.
4 Mujje e Beseri mwonoone; mujje e Girugaali mwongere okwonoona kwammwe; era muleetenga ssaddaaka zammwe buli nkya n'ebitundu byammwe eby'ekkumi buli nnaku essatu;
5 muweeyo ssaddaaka ey'okwebaza ku ebyo ebizimbulukuswa, mulangirire ebiweebwayo ku bwammwe mubiraalike: kubanga ekyo kye musiima, ai mmwe abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama Katonda.
6 Era nange mbawadde obulongoofu bw'amannyo mu bibuga byammwe n'okubulwa emmere mu mayumba gammwe gonna: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
7 Era nange mbaziyirizza enkuba, ng'ekyasigaddeyo emyezi esatu okutuusa amakungula: ne ntonnyesa enkuba ku kibuga ekimu, ne nziyiza enkuba okutonnya ku kibuga ekirala: ekitundu kimu kyatonnyebwako, n'ekitundu ky'etaatonnyako ne kiwotoka.
8 Awo ab'omu bibuga ebibiri oba bisatu ne batambulatambula ne batuuka mu kibuga ekimu okunywa amazzi, so tebakkutanga: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
9 Mbakubye n'okugengewala n'obukuku: akawuka kalidde olufulube lw'ensuku zammwe n'ensuku zammwe ez'emizabbibu n'emitiini gyammwe n'emizeyituuni gyammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
10 Mpeerezza mu mmwe kawumpuli ng'engeri ey'e Misiri bwe yali: abalenzi bammwe mbasse n'ekitala, ne nziyawo embalaasi zammwe; ne nninnyisiza ne mu nnyindo zammwe okuwunya kw'olusiisira lwammwe: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
11 Nsudde abamu ku mmwe nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola, nammwe ne muba ng'omumuli ogusiikibwa mu muliro: era naye temuddanga gye ndi, bw'ayogera Mukama.
12 Kyendiva nkukola bwe nti, ai Isiraeri: era kubanga ndikukola kino, weeteeketeeke okusisinkana ne Katonda wo, ai Isiraeri.
13 Kubanga, laba, oyo abumba ensozi, era atonda embuyaga, era abuulira omuntu by'alowooza, afuula enkya okuba ekizikiza, era alinnya ku bifo ebigulumivu eby'ensi; Mukama Katonda ow'eggye lye linnya lye.