Essuula 1
1 Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n'abaana be nze be njagala mu mazima; so si nze nzekka, era naye ne bonna abategeera amazima;
2 olw'amazima agabeera mu ffe, era aganaabeeranga naffe emirembe n'emirembe:
3 ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala.
4 Nsanyuse nnyo kubanga nnasanga abamu ku baana bo nga batambulira mu mazima, nga bwe twaweebwa Kitaffe ekiragiro.
5 Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka.
6 Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu.
7 Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.
8 Mwekuumenga muleme okubulwa emirimu gye twakola, naye muweebwe empeera ennamba.
9 Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana.
10 Omuntu yenna bw'ajjanga gye muli n'ataleeta kuyigiriza okwo temumusembezanga mu nnyumba, so temumulamusanga:
11 kubanga amulamusa assa ekimu naye mu bikolwa bye ebibi.
12 Newakubadde nga nnina ebigambo bingi okubawandiikira, ssaagala kubiwandiika ku lupapula ne bwino: naye nsuubira okujja gye muli, n'okwogera akamwa n'akamwa, essanyu lyammwe liryoke lituukirire.
13 Abaana ba muganda wo omulonde bakulamusizza.