Essuula 3
1 Mulabe okwagala bwe kuli okunene Kitaffe kwe yatuwa, ffe okuyitibwanga abaana ba Katonda; era bwe tuli. Ensi kyeva erema okututegeera, kubanga teyamutegeera ye.
2 Abaagalwa, kaakano tuli baana ba Katonda, so tekinnalabisibwa kye tuliba. Tumanyi nti bw'alirabisibwa tulifaanana nga ye; kubanga tulimulaba nga bw'ali.
3 Era buli muntu yenna alina essuubi eryo mu ye yeetukuza ng'oyo bw'ali omutukuvu.
4 Buli muntu yenna akola ekibi, akola n'obujeemu; era ekibi bwe bujeemu.
5 Era mumanyi ng'oyo yalabisibwa era aggyewo ebibi; ne mu ye temuli kibi.
6 Buli muntu yenna abeera mu ye takola kibi: buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera.
7 Abaana abato, omuntu yenna tabakyamyanga; akola obutuukirivu ye mutuukirivu, nga ye bw'ali omutuukirivu;
8 akola ekibi wa Setaani; kubanga okuva ku lubereberye Setaani akola ebibi. Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani.
9 Buli muntu yenna eyazaalibwa Katonda takola kibi, kubanga ensigo ye ebeera mu ye; so tayinza kukola kibi, kubanga yazaalibwa Katonda.
10 Ku kino abaana ba Katonda n'abaana ba Setaani kwe balabikira: buli muntu yenna atakola butuukirivu si wa Katonda, newakubadde atayagala muganda we.
11 Kubanga kino kye kigambo kye mwawulira okuva ku lubereberye ffe okwagalananga
12 si nga Kayini bwe yali ow'omubi n'atta muganda we. Era yamuttira ki? kubanga ebikolwa bye byali bibi n'ebya muganda we bituukirivu.
13 Temwewuunyanga, ab'oluganda, ensi bw'ebakyawanga.
14 Ffe tumanyi nga twava mu kufa ne tuyingira mu bulamu, kubanga twagala ab'oluganda. Atayagala abeera mu kufa.
15 Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye.
16 Ku kino kwe tutegeerera okwagala, kubanga oyo yawaayo obulamu bwe ku lwaffe: naffe kitugwanira okuwangayo obulamu bwaffe ku lw'ab'oluganda.
17 Naye buli alina ebintu eby'omu nsi, n'atunuulira muganda we nga yeetaaga, n'amuggalirawo emmeeme ye, okwagala kwa Katonda kubeera kutya mu ye?
18 Abaana abato, tuleme okwagalanga mu kigambo ne mu lulimi, wabula mu kikolwa ne mu mazima.
19 Ku kino kwe tunaategeereranga nga tuli ba mazima ne tukkakkanya omutima gwaffe mu maaso ge,
20 mu buli kigambo omutima gwaffe kye gutusalira okutusinga; kubanga Katonda asinga obukulu omutima gwaffe, era ategeera byonna.
21 Abaagalwa, omutima bwe gutatusalira kutusinga, tuba n'obugumu eri Katonda;
22 era buli kye tusaba akituwa, kubanga tukwata ebiragiro bye era tukola ebisiimibwa mu maaso ge.
23 Na kino kye kiragiro kye, tukkirize erinnya ly'Omwana we Yesu Kristo, era twagalanenga, nga bwe yatuwa ekiragiro.
24 Era akwata ebiragiro bye abeera mu ye, naye mu ye. Era ku kino kwe tutegeerera ng'abeera mu ffe, olw'Omwoyo gwe yatuwa.