Chapter 2
1 Kale nno, mmwe bakabona, ekiragiro kino kyammwe.
2 Bwe mutakkirize kuwulira era bwe mutakkirize kukissa ku mwoyo okuwa erinnya lyange ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye, kale ndiweereza ku mmwe ekikolimo ekyo, era ndikolimira emikisa gyammwe: weewaawo, mmaze okugikolimira, kubanga temukissa ku mwoyo.
3 Laba, ndinenya ensigo ku lwammwe, era ndisiiga obusa ku maaso gammwe,obusa obwa ssaddaaka zammwe; nammwe muliggibwawo wamu nabwo.
4 Awo mulimanya nga nze nnaweereza ekiragiro kino gye muli, endagaano yange ebeere ne Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
5 Endagaano yange yabanga naye ey'obulamu n'emirembe; era nnabimuwa ebyo alyoke atye, n'antya n'atekemukira erinnya lyange.
6 Etteeka ery'amazima lyabanga mu kamwa ke, so n'obutali butuukirivu tebwalabika mu mimwa gye: yatambulanga nange mu mirembe n'obugolokofu, n'akyusanga bangi okuleka obutali butuukirivu.
7 Kubanga emimwa gya kabona gyandinywezezza okumanya, era bandinoonyezza amateeka mu kamwa ke: kubanga ye mubaka wa Mukama w'eggye.
8 Naye mmwe mukyuse mukyamye mu kkubo; musittazizza bangi mu mateeka; mwonoonye endagaano ya Leevi, bw'ayogera Mukama w'eggye.
9 Nange kyenvudde mbafuula abanyoomebwa abataliimu ka buntu mu maaso g'abantu bonna, nga bwe mutakwata makubo gange naye ne mussaayo omwoyo eri amaaso g'abantu mu mateeka.
10 Fenna tetulina kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda? tukuusizakuusiza ki buli muntu muganda we, nga twonoona endagaano ya bajjajjaffe?
11 Yuda akuusizzakuusizza, era bakola eky'omuzizo mu Isiraeri ne mu Yerusaalemi: kubanga Yuda ayonoonye obutukuvu bwa Mukama bw'ayagala, era awasizza omuwala wa katonda omunnaggwanga.
12 Akola bw'atyo Mukama alimuzikiririza oyo azuukuka n'oyo ayitaba, okuva mu weema za Yakobo, n'oyo awaayo ekiweebwayo , eri Mukama w'eggye:
13 Era na kino nakyo mukikola: mubikka ekyoto kya Mukama amaziga n'okukaaba n'okussa ebikkowe, n'okussaayo n'atassaayo nate mwoyo eri ekiweebwayo so takikkiriza mu mukono gwammwe ng'asiimye.
14 Kubanga Mukama yabanga mujulirwa eri ggwe n'eri omukazi ow'omu buvubuka bwo, gwe wakuusakuusa, newakubadde nga ye munno era omukazi gwe walagaana naye endagaano.
15 Era teyakola omu? newakubadde ng'alina omwoyo ogwafikkawo? Era yakolera ki omu? Yali anoonya ezzadde eriritya Katonda. Kale mwekuumenga omwoyo gwammwe, so tewabangawo akuusakuusa omukazi ow'omu buvubuka bwe.
16 Kubanga nkyawa okugoba abakazi, bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri, n'oyo abikka ekyambalo kye n'ekyejo, bw'ayogera Mukama w'eggye: kale mwekuumenga omwoyo gwammwe muleme okukuusakuusanga.
17 Mwakooya Mukama n'ebigambo byammwe. Era naye mwogera nti Twamukooya tutya? Kubanga mwogera nti Buli muntu akola obubi aba mulungi mu maaso ga Mukama, era abasanyukira; oba Katonda nnannyini musango ali ludda wa?