Chapter 2
1 Mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu lumu ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi nga kyogera nti
2 Gamba nno Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda ne Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'abantu abafisseewo ng'oyogera nti
3 Ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? era mugiraba mutya kaakano? temugiraba nga teriimu ka buntu mu maaso gammwe?
4 Era naye kaakano beera n'amaanyi, ai Zerubbaberi, bw'ayogera Mukama; era beera n'amaanyi, ai Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; era mubeere n'amaanyi, mmwe mwenna abantu ab'omu nsi, bw'ayogera Mukama, mukole omulimu: kubanga nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama w'eggye,
5 ng'ekigambo bwe kiri kye nnalagaana nammwe bwe mwava mu Misiri, omwoyo gwange ne gubeera mu mmwe: temutya.
6 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n'ensi n'ennyanja n'olukalu;
7 ndikankanya amawanga gonna, n'ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw'ayogera Mukama w'eggye:
8 Effeeza yange ne zaabu yange, bw'ayogera Mukama w'eggye.
9 Ekitiibwa eky'ennyumba eno eky'oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka, bw'ayogera Mukama w'eggye: era mu kifo kino mwe ndiwa emirembe, bw'ayogera Mukama w'eggye.
10 Ku lunaku olw'amakumi abiri mu nnya olw'omwezi olw'omwenda mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi nga kyogera nti
11 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Buuza nno bakabona eby'amateeka ng'oyogera nti
12 Omuntu bw'asitulira ennyama entukuvu mu kirenge eky'ekyambalo kye, n'akoma ku mmere n'ekirenge kye oba mugoyo oba mwenge oba mafuta oba mmere yonna, kiriba kitukuvu? Bakabona ne baddamu ne boogera nti Nedda.
13 Awo Kaggayi n'alyoka ayogera nti Omuntu atali mulongoofu olw'omulambo bw'aba ng'akomye ku kimu ku ebyo byonna, kiriba ekitali kirongoofu? Bakabona ne baddamu ne boogera nti Kiriba ekitali kirongoofu.
14 Awo Kaggayi n'alyoka addamu n'ayogera nti Abantu bano bwe bali bwe batyo, era eggwanga lino bwe liri bwe lityo mu maaso gange, bw'ayogera Mukama; era na buli mulimu ogw'emikono gyabwe bwe guli bwe gutyo; n'ekyo kye baweerayo eyo si kirongoofu.
15 Kale nno, mbeegayiridde, mulowooze okuva leero n’okudda ennyuma, ejjinja nga terinnaba kuteekebwa ku jjinja mu yeekaalu ya Mukama:
16 mu biro ebyo byonna omuntu bwe yajjanga eri entuumu ey'ebigera amakumi abiri waabangawo kkumi jjereere: omuntu bwe yajjanga eri essogolero okusena ebita amakumi ataano, nga mulimu amakumi abiri meereere.
17 Nabakuba n'okugengewala n'obukuku n'omuzira mu mulimu gwonna ogw'emikono gyammwe; era naye temwankyukira, bw'ayogera Mukama.
18 Mulowooze, mbeegayiridde, okuva leero n'okudda ennyuma, okuva ku lunaku olw'amakumi abiri mu nnya olw'omwezi ogw'omwenda, okuva ku lunaku lwe baasimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama, mukirowooze.
19 Ensigo zikyali mu ggwanika? weewaawo, omuzabbibu n'omutiini n'omukomamawanga n'omuzeyituuni teginnabala; okuva ku lunaku lwa leero ndibawa omukisa.
20 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogw'okubiri ku lunaku olw'amakumi abiri mu nnya olw'omwezi nga kyogera nti
21 Yogera ne Zerubbaberi owessaza lya Yuda ng'oyogera nti Ndikankanya eggulu n'ensi;
22 era ndisuula entebe ey'obwakabaka bungi, era ndizikiriza amaanyi ag'obwakabaka obw'amawanga; era ndisuula amagaali n'abo abagatambuliramu; n'embalaasi n'abo abazeebagala balikkakkanyizibwa buli muntu n'ekitala kya muganda we.
23 Ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, ndikutwala ggwe, ai Zerubbaberi omuddu wange, mutabani wa Seyalutyeri, bw'ayogera Mukama, ne nkufuula ng'akabonero; kubanga nkulonze, bw'ayogera Mukama w'eggye.