Yona

Essuula: 1 2 3 4


Chapter 3

1 Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yona omulundi ogw'okubiri, nga kyogera nti
2 Golokoka, ogende e Nineeve, ekibuga ekyo ekinene, okibuulirire okubuulira kwe nkugamba.
3 Awo Yona n'agolokoka n'agenda e Nineeve nga Mukama bwe yamugamba. Era Nineeve kyali kibuga kinene nnyo nnyini olugendo lwa nnaku ssatu okukibunya.
4 Yona n'asooka okuyingira mu kibuga n'atambula olugendo lwa lunaku lumu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Ennaku amakumi ana bwe ziriyitawo, Nineeve kirizikirira.
5 Abantu ab'omu Nineeve ne bakkiriza Katonda ne balangirira okusiiba ne bambala ebibukutu, bonna okuva ku mukulu okutuuka ku muto.
6 Ebigambo ne bituuka ku kabaka ow'e Nineeve, n'agolokoka ku ntebe n'ayambulamu ekyambalo kye ne yeebikkako ebibukutu n'atuula mu vvu.
7 N'alangirira n'abuulira okubunya Nineeve olw'etteeka lya kabaka n'abakungu be, n'agamba nti Omuntu n'ensolo, eggana n'ekisibo, bireme okulega ku kintu; bireme okulyako n'okunywa amazzi;
8 naye babikkibwe ebibukutu, omuntu era n'ensolo, bakaabirire nnyo nnyini Katonda; era bikyuke, buli kintu mu kkubo lyakyo ebbi ne mu kyejo ekiri mu mikono gyabyo.
9 Ani amanyi nga Katonda alikyuka alyejjusa, n'akyuka okuleka obusungu bwe obukambwe tuleme okuzikirira?
10 Katonda n'alaba emirimu gyabwe nga bakyuse mu kkubo lyabwe ebbi; Katonda ne yejjusa obubi bwe yali ayogedde okubakola; n'atabubakola.