Obadiya

Essuula: 1


Chapter 1

1 Okwolesebwa kwa Obadiya. Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda ku Edomu; nti Tuwulidde ebigambo ebiva eri Mukama n’omubaka atumiddwa eri amawanga nti Muyimuke, tuyimuke ku nsi ye tulwane naye.
2 Laba, nkufudde omuto mu mawanga; onyoomebwa nnyo ggwe.
3 Amalala ag'omu mutima gwo gakukyamizza, ggwe azimba mu biwuku eby'omu lwazi, ggwe atuula waggulu; ayogera mu mutima gwe nti Ani alinzisa wansi?
4 Newakubadde ng'olinnya mu ggulu ng'empungu era ekisu kyo nga kiteekebwa wakati mu munnyeenye, ndikussa wansi ove eyo; bw'ayogera Mukama.
5 Oba ababbi bajja gy'oli, oba abanyazi ekiro (so nga ozikirira!) tebandibbye bya kubamala? oba abanozi b'ezabbibu bajja gy'oli, tebandirese zabbibu ezeerebwawo?
6 Ebya Esawu nga binoonyezebwa, ebikwekebwa ye nga bivumbuka!
7 Abantu bonna abaalagaana gy'oli bakuwerekedde okutuuka ku nsalo; abantu abaali balina emirembe naawe bakukyamizza era bakulemye; abaalya emmere yo batega omutego wansi wo; so temuli kutegeera mu ye.
8 Ku lunaku luli sigenda kuzikiriza abagezigezi bave mu Edomu n'okutegeera kuve mu lusozi lwa Esawu? bw'ayogera Mukama.
9 Era abazira bo; ggwe Temani, balyekanga buli muntu alyoke aggibwe mu lusozi lwa Esawu era attibwe.
10 Kubanga wagirira amaanyi muganda wo Yakobo, ensonyi zirikukwata era oliggibwawo emirembe gyonna.
11 Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunaku abayise lwe baanyaga ebintu bye n'abagenyi lwe baayingira mu nzigi ze eza wankaaki ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe n'ofaanana ng'omu ku abo.
12 Naye totunuulira lunaku lwa muganda wo ku lunaku olw'okugwirwako akabi, so tosanyuka olw'abaana ba Yuda ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe; so teweekuza n'akamwa ko ku lunaku olw'akabi.
13 Toyingiranga mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku mwe balirabira ennaku; so naawe totunuuliranga kabi kaabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku so temukomanga ku bintu byabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku.
14 So toyimiriranga mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawona; so towangayo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi.
15 Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna: nga bwe wakola bwe kityo bwe kirikukolebwa ggwe; by'okola biridda ku mutwe gwo.
16 Kubanga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga ennaku zonna; weewaawo, ganaanywanga ganaamiranga galiba ng'agatabangawo.
17 Naye ku lusozi Sayuuni kulibaako abawona, era luliba lutukuvu; n'ennyumba ya Yakobo eriba n'ebintu byabwe.
18 Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro n'ennyumba ya Esawu nsambu, nabo balyaka gye bali, balibazikiriza; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde.
19 N'olusozi lwa Esawu lulifuuka lw'abo ab'obukiika obwa ddyo; ensi y'Abafirisuuti eriba y'abo ab'ensenyi; era bo balirya ennimiro ya Efulayimu, n'ennimiro ey'e Samaliya: era Gireyaadi eriba ya Benyamini.
20 N'abo ab'eggye lino ery'abaana ba Isiraeri abafugibwa obuddu abali mu Bakanani, baliba n'ensi okutuuka ku Zalefaasi; n'abo ab'omu Yerusaalemi abafugibwa obuddu abali mu Sefalaadi baliba n'ebibuga eby'obukiika obwa ddyo.
21 Era abalokozi balirinnya ku lusozi Sayuuni basalire olusozi lwa Esawu omusango; n'obwakabaka buliba bwa Mukama.