Chapter 2
1 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, era mulayize ku lusozi lwange olutukuvu; bonna abali mu nsi bakankane: kubanga olunaku lwa Mukama lujja, kubanga luli kumpi;
2 olunaku olw'ekizikiza n'ekikome, olunaku olw'ebire n'ekizikiza ekikutte, ng'emmambya bw'esalira ku nsozi; eggwanga eddene era ery'amaanyi, tewabangawo eribenkana, so tewalibaawo nate oluvannyuma lwabwe, okutuusa ku myaka egy'emirembe emingi.
3 Omuliro gwokya mu maaso gaabwe; era ennyuma waabwe ennimi z'omuliro zaaka: ensi eri ng'olusuku lwa Adeni mu mberi yaabwe, n'e nnyuma yaabwe ddungu eryazika so naye tewali eyali abawonye.
4 Enfaanana yaabwe eri ng'enfaanana y'embalaasi; era ng'abeebagadde embalaasi bwe baddukana bwe batyo embiro:
5 Babuuka nga bawuuma ng'amagaali bwe gawuumira ku ntikko z'ensozi, ng'omuliro bwe guwuuma ogwokya ensambu ng'eggwanga ery'amaanyi erisimbye ennyiriri olw'olutalo.
6 Olw'okujja kwabwe abantu babalagalwa amaaso gonna gafuuse ebbala.
7 Badduka mbiro ng'abasajja ab'amaanyi; balinnya bbugwe ng'abasajja abalwanyi; era basimba buli muntu mu kkubo lye, so tebasobya nnyiriri.
8 So tewali eyeesiga munne; basimba buli muntu mu mpitiro ye: era bawagulira awali ebyokulwanyisa, so tebakoma mu lugendo lwabwe.
9 Babuuka bagwa ku kibuga; bafubutukira ku bbugwe; bawalampa ne batuuka mu nnyumba; bayingirira mu madirisa ng'omubbi.
10 Ettaka likankana mu maaso gaabwe; eggulu lijugumira, enjuba n'omwezi bibaako ekizikiza n'emmunyeeye zirekayo okwaka kwazo:
11 era Mukama aleeta eddoboozi lye mu maaso g'eggye lye kubanga olusiisira lwe lunene nnyo kubanga oyo atuukiriza ekigambo kye wa maanyi: kubanga olunaku lwa Mukama lukulu, lwa ntiisa nnyo nnyini; era ani ayinza okulusobola?
12 Era naye ne kaakano munkyukire n'omutima gwammwe gwonna, n'okusiiba n'okukaaba amaziga n'okuwuubaala:
13 era muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe: kubanga wa kisa, era ajjudde okusaasira, alwawo okusunguwala, era akwatirwa nnyo ekisa, era yejjusa obutaleeta bubi.
14 Ani amanyi oba nga taakyuke ne yejjusa n'aleka omukisa ennyuma we, kye kiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo eky'okunywa eri Mukama Katonda wammwe?
15 Mufuuyire ekkondeere mu Sayuuni, mutukuze okusiiba, muyite okukuŋŋaana okutukuvu:
16 mukuŋŋaanye abantu, mutukuze ekibiina, mukuŋŋaanye abakadde, muleete abaana abato n'abo abayonka amabeere: awasa omugole ave mu kisenge kye, n'omugole mu nju ye.
17 Bakabona, abaweereza ba Mukama, bakaabire amaziga wakati w'ekisasi n'ekyoto, era boogere nti Saasira abantu bo, ai Mukama, so towaayo busika bwo okuvumibwa, amawanga okubafuga: kiki ekinaaba kiboogezza mu mawanga nti Katonda waabwe ali ludda wa?
18 Awo Mukama n'akwatirwa obuggya ensi ye, n'asaasira abantu be.
19 Awo Mukama n'addamu n’agamba abantu be nti Laba, ndibaweereza eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, era biribakkusa:
20 so siribafuula nate ekivume mu mawanga: naye ndibaggyako eggye ery'obukiika bwa kkono ne nditwala wala, ne mbagobera mu nsi enkalu eyalekebwawo, abakulembeze be mu nnyaja ey'ebuvanjuba, n'abasembi be mu nnyanja ey'ebugwanjuba; n'ekivundu kye kiririnnya, n'okuwunya kwe kulirinnya, kubanga akoze bikulu.
21 Totya, ggwe ensi, sanyuka ojaguze; kubanga Mukama akoze ebikulu.
22 Temutya, mmwe ensolo ez'omu nsiko; kubanga amalundiro ag'omu ddungu galoka, kubanga omuti gubala ebibala byagwo, omutiini n'omuzeyituuni gireeta amaanyi gaagyo.
23 Kale musanyuke, mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukana Katonda wammwe: kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza enkuba, enkuba eya ttoggo n'enkuba eya ddumbi, mu mwezi ogw'olubeeberye.
24 N'amawuuliro galijjula eŋŋaano, n'amasogolero galiyiika omwenge n'amafuta.
25 Era ndibaddiza emyaka enzige gye yalya, kalusejjera n'akaacaaka n'akawuka, eggye lyange eringi lye nnagaba okubatabaala.
26 Kale munaalyanga bingi nnyo, ne mukkuta, ne mutendereza erinnya lya Mukama Katonda wammwe eyabakola eby'ekitalo: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi ennaku zonna.
27 Era mulimanya nga ndi wakati mu Isiraeri, era nga ndi Mukama Katonda wammwe, so tewali mulala: n'abantu bange tebalikwatibwa nsonyi.
28 Awo olulituuka oluvannyuma ndifuka omwoyo gwange ku bonna abalina omubiri; kale batabani bammwe ne bawala bammwe baliragula, abakadde bammwe baliroota ebirooto, abalenzi bammwe baliraba okwolesebwa:
29 era ne ku baddu ne ku bazaana mu nnaku ezo kwe ndifuka omwoyo gwange.
30 Era ndyolesa eby'ekitalo mu ggulu ne mu nsi, omusaayi n'omuliro n'empagi ez'omukka.
31 Enjuba erifuuka kizikiza, n'omwezi okuba omusaayi, olunaku lwa Mukama olukulu era olw'entiisa nga terunnaba kujja.
32 Awo olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka: kubanga ku lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi walibaawo abo abaliwona, nga Mukama bwe yayogera, ne mu kitundu ekirifikkawo mulibaamu abo Mukama b'aliyita.