Okukungubaga

Essuula: 1 2 3 4 5


Chapter 2

1 Mukama ng'abisseeko ekire ku muwala wa Sayuuni ng'aliko obusungu! Asudde ku nsi okuva mu ggulu obulungi bwa Isiraeri, So tajjukidde ntebe ya bigere bye ku lunaku olw'obusungu bwe.
2 Mukama amize ennyumba zonna eza Yakobo, so takwatiddwa kisa; Asudde ebifo eby'amaanyi eby'omuwala wa Yuda olw'obusungu bwe; Abikkakkanyizza okutuuka ku ttaka: Ayonoonye obwakabaka n'abakungu baamu.
3 Amazeewo ejjembe lyonna erya Isiraeri ng'aliko ekiruyi; Azzizzaayo omukono gwe ogwa ddyo mu maaso g'omulabe: Era ayokezza Yakobo ng'omuliro ogwaka ennyo, ogwokya enjuyi zonna.
4 Anaanudde omutego gwe ng'omulabe, ayimiridde n'omukono gwe ogwa ddyo ng'omulabe, Era asse bonna abaasanyusanga amaaso: Mu weema ey'omuwala wa Sayuuni mw'afukidde obusungu bwe ng'omuliro.
5 Mukama afuuse ng'omulabe, amize Isiraeri: Amize amayumba gaamu gonna, azikirizza ebifo bye eby'amaanyi: Era ayongedde okuwuubaala n'okukungubaga mu muwala wa Yuda.
6 Era aggyeewo eweema ye lwa maanyi, ng'ey'omu lusuku; Azikirizza ekifo kye eky'okukuŋŋaanirangamu: Mukama yeerabizza mu Sayuuni okukuŋŋaana okutukuvu ne ssabbiiti, Era anyoomye kabaka ne kabona olw'okunyiiga kw'obusungu bwe.
7 Mukama asudde ekyoto kye, atamiddwa awatukuvu we, Awaddeyo mu mukono gw'omulabe ebisenge by'amayumba gaamu: Bayoogaanidde mu nnyumba ya Mukama, nga ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu.
8 Mukama ateesezza okuzikiriza bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni; Aleeze omugwa, omukono gwe taguzzizzaayo okuleka okuzikiriza: Naye akungubazizza olukomera ne bbugwe; biggweerawo wamu.
9 Emiryango gye gibulidde mu ttaka; azikirizza amenye ebisiba bye: Kabaka we n'abakungu be bali mu mawanga eteri mateeka; Weewaawo, banaabbi be tebalaba kwolesebwa okuvudde eri Mukama.
10 Abakadde ab'omuwala wa Sayuuni batudde ku ttaka, basirise; Batadde enfuufu ku mitwe gyabwe; beesibye ebibukutu: Abawala ba Yerusaalemi bakoteka emitwe.
11 Amaaso gange gaziba olw'amaziga, emmeeme yange yeeraliikiridde, Ekibumba kyange kifukiddwa ku ttaka olw'okuzikirira kw'omuwala w'abantu bange; Kubanga abaana abato n'abayonka bazirikira mu nguudo ez'omu kibuga.
12 Bagamba bannyaabwe nti Eŋŋaano n'omwenge biri ludda wa? Bwe bazirikira ng'abaliko ebiwundu mu nguudo ez'omu kibuga, Emmeeme yaabwe bw'efukibwa mu kifuba kya bannyaabwe.
13 Kiki kye nnaakutegeeza nga ndi mujulirwa gy'oli? kiki kye nnaafaananya naawe, ai omuwala wa Yerusaalemi? Kiki kye nnenkanya naawe, nkusanyuse, ai omuwala wa Sayuuni atamanyi musajja? Kubanga ekituli kyo kinene ng'ennyanja: ani ayinza okukuwonya?
14 Bannabbi bo bakulabidde okwolesebwa okutaliimu okw'obusirusiru; So tebakunnyonnyodde obutali butuukirivu bwo, okukomyawo obusibe bwo: Naye bakulabidde emigugu egitaliimu n'ensonga ez'okugobebwa.
15 Bonna abayitawo bakukubira mu ngalo; Basooza ne banyeenyereza omutwe gwabwe omuwala wa Yerusaalemi nga boogera nti Kino kye kibuga abantu kye baayitanga nti Obulungi obw'Abatuukirira, Essanyu ery'ensi zonna?
16 Abalabe bo bonna bakwasamidde nnyo akamwa kaabwe; Basooza ne baluma obujigi; boogera nti Tumumize; Mazima luno lwe lunaku lwe twasuubira; tulusanze, tululabye.
17 Mukama akoze ekyo kye yateesa; Atuukirizza ekigambo kye kye yalagira mu nnaku ez'edda; Asudde so tasaasidde: Era awadde omulabe okukusanyukirako, Agulumizizza ejjembe ly'abo abakukyawa.
18 Omutima gwabwe gwakaabira Mukama: Ai bbugwe ow'omuwala wa Sayuuni, amaziga gakulukute ng'omugga emisana n'ekiro; Teweewummuza n'akatono; emmunye y'eriiso lyo terekangayo.
19 Golokoka, okaabe ekiro ebisisimuka we bisookera; Fuka omutima gwo ng'amazzi mu maaso ga Mukama: Yimusa emikono gyo gy'ali olw'obulamu bw'abaana bo abato, Abaagala okufa enjala buli luguudo we lusibuka.
20 Tunula, ai Mukama, olabe bw'ali gw'okoze bw'otyo Abakazi balirya ebibala byabwe, abaana ababuusibwabuusibwa mu mikono gyabwe? Kabona ne nnabbi balittirwa mu kifo ekitukuvu ekya Mukama
21 Omulenzi n'omukadde bagalamidde ku ttaka mu nguudo; Abawala bange n'abalenzi bange bagudde n'ekitala: Obattidde ku lunaku olw'obusungu bwo; osse so tosaasidde.
22 Oyise entiisa zange okukuŋŋaana okuva enjuyi zonna nga ku lunaku olw'okukuŋŋaana okutukuvu, So tewali eyawona newakubadde eyasigalawo ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama: Abo be nnabuusabuusa n'endera omulabe wange abamazeewo.