Engero

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

  • 1 Mwana wange, okwatanga ebigambo byange, Oterekanga ebiragiro byange ewuwo.
    2 Okwatanga ebiragiro byange obeerenga omulamu; N'etteeka lyange ng'emmunye ey'eriiso lyo.
    3 Bisibenga ku mukono gwo; Biwandiikenga ku bipande eby'omutima gwo.
    4 Gambanga amagezi nti Ggwe mwannyinaze; Oyitenga okutegeera ow'ekika kyammwe:
    5 Bikukuumenga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye.
    6 Kubanga nalingiza mu ddirisa ery'ennyumba yange Mu mulimu omuluke ogw'omu ddirisa;
    7 Ne ndaba mu batalina magezi, Ne ntegereza mu balenzi, Omuvubuka atalina kutegeera,
    8 Ng'ayita mu luguudo kumpi ku mugguukiriro gwe, N'agenda mu kkubo eridda mu nnyumba ye;
    9 Mu kizikiza, obudde nga buwungedde; Mu kizikiza eky'ekiro zigizigi.
    10 Kale, laba, ne wamusisinkana omukazi Ng'ayambadde ebyambalo eby'omwenzi, era ow'omutima omugerengetanya.
    11 Muyombi era mukakanyavu; Ebigere bye tebibeera mu nnyumba ye:
    12 Oluusi aba mu nguudo, oluusi mu bifo ebigazi, Era ateegera ku buli mugguukiriro.
    13 Awo n'amukwata n'amunywegera, N'amugamba ng'amusimbye amaaso nti
    14 Ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe ziri wange; Leero mmaze okusasula obweyamo bwange.
    15 Kyenvudde nfuluma okukusisinkana, Okunyiikira okunoonya amaaso go, era nkulabye.
    16 Njaze ekitanda kyange n'amagodooli, N'engoye ez'amakuubo eza ppamba w’e Misiri.
    17 Mpunyisizza bulungi ekiriri kyange N'obubaane n'omugavu n'eby'akaloosa.
    18 Jjangu tukkute okwagala okukeesa obudde; Twesanyuse n'okwagala.
    19 Kubanga baze tali ka, Yatambula lugendo lwa wala:
    20 Yagenda ng'atwala ensawo eya ffeeza; Alikomawo omwezi nga gwa ggabogabo.
    21 Amukkirizisa n'ebigambo bye ebirungi bingi, Amuwaliriza okugenda n'okwegonza okw'emimwa gye.
    22 Amangu ago agenda amugobeberera, Ng'ente bw'egenda okusalibwa, Oba ng'amasamba bwe gagenda okukangavvula omusirusiru;
    23 Okutuusa akasaale lwe kalifumita ekibumba kye; Ng'ennyonyi bw'eyanguwa okugwa mu kyambika, So tamanyi ng'alifiirwa obulamu bwe.
    24 Kale nno, baana bange, mumpulirenga, Era mussengayo omwoyo eri ebigambo eby'omu kamwa kange.
    25 Omutima gwo tegukyamiranga mu makubo ge, Towabiranga mu mpenda ze.
    26 Kubanga yasuula bangi nga bafumitiddwa ebiwundu: Weewaawo, ababe abattibwa ggye ddene.
    27 Ennyumba ye lye kkubo lyennyini eridda mu magombe. Nga likka mu bisenge eby'okufa.