Chapter 2
1 Era Nawomi yalina muganda wa bba, omusajja ow'amaanyi omugagga, ow'omu nnyumba ya Erimereki; n'erinnya lye Bowaazi.
2 Awo Luusi Omumowaabu n'agamba Nawomi nti Ka ŋŋende kaakano mu nnimiro, nnonde ku birimba bya sayiri nga ngoberera oyo anankwatirwa ekisa. N'amugamba nti Genda, mwana wange.
3 N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise: era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki.
4 Era, laba, Bowaazi n'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti Mukama abeere nammwe. Ne bamuddamu nti Mukama akuwe omukisa.
5 Awo Bowaazi n'agamba omuddu we eyali akunguza abakunguzi nti Omuwala ono w'ani?
6 Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu:
7 n'ayogera nti Nnonde, mbeegayiridde, nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa: awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono.
8 Awo Bowaazi n'alyoka agamba Luusi nti Towulira mwana wange? Togendanga kulonda mu nnimiro endala, so tovanga wano, naye obeeranga wano kumpi; n'abawala bange.
9 Amaaso go gabe ku nnimiro, gye banaakungulanga, naawe obagobererenga: sikuutidde balenzi obutakukomangako era ennyonta bw'eneekulumanga, ogendanga awali ensuwa, n'onywa ku ago abalenzi ge basenye.
10 Awo n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga?
11 Bowaazi n'addamu n'amugamba nti Bambuulirira ddala byonna bye waakakoze nnyazaala wo balo kasooka afa: era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko.
12 Mukama akusasulire emirimu gyo, era oweebwe empeera etebulako Mukama Katonda wa Isiraeri, gwe weeyuna wansi w'ebiwawaatiro bye.
13 Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.
14 Awo obudde bwe bwatuuka okulya Bowaazi n'amugamba nti Jjangu olye ku mmere okoze ennoga yo omwenge omukaatuufu. N'atuula ku mabbali g'abakunguzi: ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa.
15 Awo bwe yagolokoka okulonda, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti Alonde ne mu binywa so temumuvumanga.
16 Era mumutoolereko ne mu miganda, mugireke, alonde so temumuwuunako.
17 Awo n'alonda mu nnimiro n'azibya obudde: n'awuula ze yali alonze, ne ziba nga efa eya sayiri.
18 N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga: nnyazaala we n'alaba z'alonze: n'aleeta n'amuwa eyasigaddewo bwe yamala okukkuta.
19 Awo nnyazaala we n'amugamba nti Olonze wa leero? era okoze wa emirimu? aweebwe omukisa oyo akwekkaanyizza. N'ategeeza nnyazaala we oyo bwe yali gw'akoze naye, n'ayogera nti Omusajja gwe nkoze naye leero erinnya lye Bowaazi.
20 Nawomi n'agamba muka mwana we nti Aweebwe Mukama omukisa, atannaleka kisa kye eri abalamu n'eri abaafa. Nawomi n'amugamba nti Omusajja oyo muganda waffe ddala, omu ku banunuzi baffe.
21 Luusi Omumowaabu n'ayogera nti Weewaawo, aŋŋambye nti Onoobeeranga kumpi n'abalenzi bange, okutuusa lwe balimala eby'okukungula byange byonna.
22 Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti Kirungi, mwana wange, oyitenga wamu n'abazaana be, so baleme okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna.
23 Awo n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'atuula ne nnyazaala we.