i

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9

Chapter 7

1 Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: era, laba, yabumba enzige ebimererezi nga bitanudde okumera; era, laba, byali bimererezi okukungula kwa kabaka nga kuwedde.
2 Awo olwatuuka bwe zaamala okulya omuddo ogw'omu nsi ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, sonyiwa, nkwegayiridde: Yakobo anaayimirira atya? kubanga mutono.
3 Mukama ne yejjusa olw'ekyo: Tekiribaawo, bw'ayogera Mukama.
4 Bw'atyo Mukama Katonda bwe yandaga: kale, laba, Mukama Katonda n'ayita abantu okuwakana n'omuliro; ne gwokya obuziba obunene, era gwandimazeewo n'olukalu.
5 Awo ne ndyoka njogera nti Ai Mukama Katonda, lekayo, nkwegayiridde: Yakobo anaayinza atya okuyimirira? kubanga mutono.
6 Awo Mukama ne yejjusa ekyo: Era n'ekyo tekiribaawo, bw'ayogera Mukama Katonda.
7 Bw'atyo bwe yandaga: kale, laba, Mukama n'ayimirira ku mabbali g'ekisenge ekyazimbibwa n'omugwa ogugera, era ng'akutte omugwa ogugera mu mukono gwe.
8 Awo Mukama n'aŋŋamba nti
i, olaba ki? Ne ŋŋamba nti Omugwa ogugera. Awo Mukama n'ayogera nti Laba, nditeeka omugwa ogugera wakati w'abantu bange Isiraeri; siribayitako nate lwa kubiri:
9 n'ebifo ebigulumivu ebya Isaaka birirekebwawo, n'ebifo ebitukuvu ebya Isiraeri birizisibwa; era ndigolokokera ku nnyumba ya Yerobowaamu n'ekitala.
10 Awo Amaziya kabona ow'e Beseri n'atumira Yerobowaamu kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti
i akwekobedde wakati mu nnyumba ya Isiraeri: ensi teyinza kugumiikiriza bigambo bye byonna.
11 Kubanga
i bw'ayogera bw'ati nti Yerobowaamu alifa n'ekitala, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.
12 Era Amaziya n'agamba
i nti Ggwe omulabi, genda weddukire mu nsi ya Yuda, oliire eyo emmere, olagulire eyo:
13 naye tolagulanga nate lwa kubiri e Beseri: kubanga kye kifo ekitukuvu ekya kabaka, era ye nnyumba ya kabaka.
14 Awo
i n'alyoka addamu n'agamba Amaziya nti Nnali siri nnabbi, so saali mwana wa nnabbi; naye nnali musumba era musalizi w'emisukomooli:
15 Mukama n'anziya ku mulimu ogw'okugoberera ekisibo, Mukama n'aŋŋamba nti Genda olagule abantu bange Isiraeri.
16 Kale nno wulira ekigambo kya Mukama: Oyogera nti Tolagulanga ku Isiraeri, so totonnyesanga ku nnyumba ya Isaaka;
17 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mukazi wo aliba mwenzi mu kibuga, ne batabani bo ne bawala bo baligwa n'ekitala, n'ensi yo erigabibwa n'omugwa; naawe kennyini olifiira mu nsi eteri nnongoofu, era Isiraeri talirema kutwalibwa nga musibe okuva mu nsi ye.