Chapter 15

1 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
2 Omwana w'omuntu, omuzabbibu gusinga gutya omuti gwonna, oba ettabi ery'ogumu ku miti egy'omu kibira?
3 Banaggyangako emiti okukola omulimu gwonna? oba abantu banaggyangako ekikondo okuwanikako ekintu kyonna?
4 Laba, bagusuula mu muliro okuba enku: omuliro gugwokezza eruuyi n'eruuyi ne wakati waagwo wayidde; guliko kye gugasa olw'omulimu gwonna?
5 Laba, bwe gwali nga gukyali mulamba, tegwasaanira mulimu gwonna: kale omuliro nga gugwokezza era nga guyidde gukyasaanira gutya omulimu gwonna?
6 Kale Mukama Katonda kyava ayogera bw'ati nti Ng'omuzabbibu mu miti egy'omu kibira, gwe mpaddeyo eri omuliro okuba enku, bwe ntyo bwe ndiwaayo abo abali mu Yerusaalemi.
7 Era ndikakasa amaaso gange okuboolekera; balifuluma mu muliro, naye omuliro gulibookya; kale mulimanya nga nze Mukama, bwe ndikakasa amaaso gange okuboolekera.
8 Era ndizisa ensi kubanga basobezza, bw'ayogera Mukama Katonda.