Chapter 47

1 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi eky'Abafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza.
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, amazzi gatumbiira agava obukiika obwa kkono, era galifuuka omugga ogwanjaala, era galyanjaala mu nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu: n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi baliwowoggana.
3 Olw'emisinde gy'okusamba kw'ebinuulo by'ensolo ze ez'amaanyi, olw'okuwuluuka kw'amagaali ge, olw'okuvuuma okwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebava balema okutunula ennyuma eri abaana baabwe, emikono gyabwe lw'okuba eminafu;
4 olw'olunaku lujja okunyaga Abafirisuuti, okumalawo ku Ttuulo ne Sidoni buli mubeezi asigaddewo: kubanga Mukama alinyaga Abafirisuuti, ekitundu ekifisseewo eky'ekizinga Kafutoli.
5 Gaza aliko ekiwalaata; Asukulooni amaliddwawo, ekitundu ekifisseewo ku kiwonvu kyabwe: olituusa wa okwesala?
6 Ai ggwe ekitala kya Mukama, olituusa wa obutatereera? weeteke mu kiraato kyo; wummula osirike.
7 Oyinza otya okutereera, kubanga Mukama aliko ky'akukuutidde? akiragidde okulwana ne Asukulooni n'ettale ly'ennyanja.