Engero

Essuula: 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31

  • 1 Engero za Sulemaani. Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
    2 Obugagga obw'obubi tebuliiko kye bugasa: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa.
    3 Mukama taalekenga mmeeme ya mutuukirivu okufa enjala: Naye okwegomba kw'ababi akusindika eri.
    4 Ayavuwala oyo akola n'omukono oguddiridde: Naye omukono gw'abanyiikivu guleeta obugagga.
    5 Akungulira mu kyeya mwana wa magezi: Naye oyo eyeebakira mu biro eby'okukunguliramu ye mwana akwasa ensonyi.
    6 Emikisa giba ku mutwe gw'omutuukirivu: Naye ekyejo kibikka ku kamwa k'ababi.
    7 Ekijjukizo ky'omutuukirivu kirina omukisa: Naye erinnya ly'ababi lirivunda.
    8 Alina omutima ogw'amagezi anakkirizanga ebiragiro: Naye omubuyabuya aligwa.
    9 Atambulira mu bugolokofu ye atambula emirembe: Naye akyamya amakubo ge alimanyibwa.
    10 Atemya eriiso eleeta ennaku: Naye omusirusiru omubuyabuya aligwa.
    11 Akamwa k'omutuukirivu nsulo ya bulamu: Naye ekyejo kibikka ku kamwa k'ababi.
    12 Okukyawa kuleeta ennyombo: Naye okwagala kubikka ku byonoono byonna.
    13 Mu mimwa gy'oyo alina okwawula mulabikamu amagezi: Naye omuggo gwa mabega g'oyo abulwa okutegeera.
    14 Ab'amagezi batereka okumanya: Naye akamwa k'omusirusiru kwe kuzikirira okutavaawo.
    15 Ebintu eby'omugagga kye kibuga kye eky'amaanyi: Abaavu okuzikirira kwabwe bwavu bwabwe.
    16 Omulimu ogw'omutuukirivu guleeta bulamu; Ekyengera eky'omubi kireeta kwonoona.
    17 Oyo ali mu kkubo ery'obulamu assaayo omwoyo eri okubuulirirwa: Naye oyo aleka okunenyezebwa akyama.
    18 Oyo akisa okukyawa wa mimwa gya bulimba; N'oyo awaayiriza musirusiru.
    19 Mu lufulube lw'ebigambo temubula kusobya: Naye oyo aziyiza emimwa gye akola eby'amagezi.
    20 Olulimi lw'omutuukirivu ffeeza nnonde: Omutima gw'ababi tegugasa nnyo.
    21 Emimwa gy'omutuukirivu giriisa bangi: Naye abasirusiru bafa olw'okubulwa okutegeera.
    22 Omukisa gwa Mukama gwe gugaggawaza, So tagatta buyinike bwonna wamu nagwo.
    23 Okukola obubi muzannyo gwa musirusiru: Era bwe gatyo amagezi bwe gabeera eri omuntu alina okutegeera.
    24 Omubi ky'atya kirimujjira: N'ekyo abatuukirivu kye beegomba balikiweebwa.
    25 Empewo ez'akazimu bwe ziyita, kale omubi nga takyaliwo: Naye omutuukirivu musingi gwa lubeerera.
    26 Ng'omwenge omukaatuufu bwe gugira amannyo, era ng'omukka bwe gugira amaaso, N'omugayaavu bw'agira bw'atyo abo abamutuma.
    27 Okutya Mukama kuwangaaza: Naye emyaka gy'ababi girisalibwako.
    28 Essuubi ery'abatuukirivu liriba ssanyu: Naye okusuubira kw'ababi kulizikirira.
    29 Ekkubo lya Mukama kigo eri omugolokofu; Naye kuzikirira eri abo abakola ebitali bya butuukirivu.
    30 Omutuukirivu tajjululwenga ennaku zonna: Naye ababi tebalibeera mu nsi.
    31 Akamwa k'omutuukirivu kazaala amagazi: Naye olulimi olubambaavu lulimalibwawo.
    32 Emimwa gy'omutuukirivu gigaanyi ebikkirizibwa: Naye omumwa gw'ababi gwogera bubambaavu.